Psalms 111:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyewuunyisa bye yabissizaawo ekijjukizo, Omukama musaasizi era wa kisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye, Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo; Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama wa kisa era musaasizi, atujjukiza ebikolwa bye ebyewuunyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo: Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.