Psalms 111:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalaga abantu amaanyi g'ebikolwa bye, ng'abawa obusika bw'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi; n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu be abalaze obuyinza bwe, ng'abawa ensi y'ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga.