Psalms 112:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubi aliraba n'anyiikaala; aliruma obugigi n'akonvuba; okwegomba kw'aboonoonyi temuliva kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala, n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola. Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo; Aliruma obujiji naye nga talina kya kukola. Omubi by'ayagala tebimugasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo omubi akiraba ne kimusunguwaza, aluma amannyo ng'anyolwa. Omubi by'ayagala birimufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo; Aliruma obujiji n'amannyo ge: alinyolwa: Omubi by'ayagala birifa.