Psalms 112:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Talitya mawulire mabi; omutima gwe munywevu, asuubira mu Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawulire amabi tegaamutiisenga, kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Taatyenga mawulire mabi, Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawulire amabi tagatya, aguma nga yeesiga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Taatyenga bigambo bya bubi: Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.