Psalms 112:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwe guli mu ddembe, talitya, okutuusa lw'aliwangula abalabe be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga, era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwe mugumu, taatyenga, Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tatya, omutima gwe mugumu, okutuusa lw'aliraba ng'abalabe be bawanguddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwe gutereera, taatyenga, Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be.