Psalms 112:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamansa n'agabira abaavu; obutuukirivu bwe busigalawo emirembe gyonna. Aligulumizibwa mu kitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agabidde abaavu bye beetaaga; mutuukirivu ebbanga lyonna; era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agabye nga bw'ayagala, awadde abaavu; Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna. Ejjembe lye lirigulumizibwa n'ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wa kisa mu kugabira abaavu, ekisa kye tekimuggwaako. Alisiimibwa n'aweebwa ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Agabye, awadde abaavu; Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna: Ejjembe lye lirigulumizibwa n'ekitiibwa.