Psalms 113:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugumba amuwa awaka aw'okusula, n'amufuula nnakazadde omusanyufu. Alleluuya!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi omugumba amuwa abaana, n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu. Mutendereze Mukama!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awa omukazi omugumba amaka, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mutendereze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aweesa omukazi omugumba ekitiibwa mu maka, n'amusanyusa ng'amuwa okuzaala abaana. Mutendereze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Atuuza mu nju omukazi omugumba, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mumutendereze Mukama.