Psalms 116:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, nze ndi muweereza wo ddala, nze ndi muweereza wo, mwana wa muzaana wo; ggwe wakutula enjegere zange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe, nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, ndi muddu wo; Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndi muweereza wo, ayi Mukama, nga mmange bwe yali. Omponyezza okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo: Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba.