Psalms 116:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emiguwa gy'olumbe gyanzingirira, obulumi bw'emagombe bwankwata; najjirwa ennaku n'okunyolwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emiguwa gy’okufa gyansiba, n’okulumwa okw’emagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata; Ne ndaba ennaku n'okutegana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akabi ak'okufa kantaayiza, obulumi obw'emagombe ne bunkwata, ne nzijula obuyinike, ne nkaluubirirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata: Ne ndaba ennaku n'okutegana.