Psalms 119:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkunoonya n'omutima gwange gwonna, tondeka kuwunjuka ku biragiro byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkunoonya n’omutima gwange gwonna; tonzikiriza kuva ku mateeka go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omutima gwange gwonna nkunoonya; Tonzikiriza okukyama okuva ku mateeka go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nfuba okukuweereza n'omutima gwange gwonna, mponya okujeemera bye walagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza: Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira.