Psalms 119:133 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigere byange birambike nga bwe wagamba, wabulewo obwonoonefu obunneefuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri, era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onnuŋŋamyenga nga bwe wasuubiza, waleme kubaawo kibi kinfuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.