Psalms 119:149 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wulira eddoboozi lyange, ayi Mukama, olw'ekisa kyo; mpa obulamu ng'osinziira ku butuufu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, Ayi Mukama, ng'emisango gyo bwe giri:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'ekisa kyo ayi Mukama, owulire kye ŋŋamba nti kuuma obulamu bwange ggwe omwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, ai Mukama, ng'emisango gyo bwe giri: