Psalms 119:155 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababi obulokofu bubali wala, kubanga tebanoonya mateeka go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala, kubanga tebanoonya mateeka go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababi tebalokolebwa, kubanga tebafa ku bye walagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go.