Psalms 119:158 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisa obubi mbatunuulira ne mbeetamwa, kubanga tebakuuma bye wasuubiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnakuwalira abo abatakwesiga, kubanga tebakwata biragiro byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndaba ab'enkwe ne neetamwa, kubanga tebakwata biragiro byo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo.