Psalms 119:168 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkwata amateeka go ne by'oyigiriza, kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kye nkola okimanyi, era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go. TAWU
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntuukiriza bye walagira ne bye wakuutira, era olaba byonna bye nkola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.