Psalms 119:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amakubo ag'obulimba gakuumire wala nange; ngirira ekisa olw'etteeka lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu; olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onziggyeeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mponya okugoberera ekikyamu, naye olw'ekisa kyo, onjigirize amateeka go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onziyeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa.