Psalms 119:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso gange gaggye ku bintu ebitagasa; mpa mbeere mulamu mu kkubo lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu; obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mponya okumalira omwoyo ku bitalina mugaso, naye ebigambo byo bimpe obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go.