Psalms 119:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ky'amazima tokinzigyanga n'akatono mu kamwa, kubanga mu mateeka go mwe ntadde essuubi lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange; kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga nnaasuubiranga emisango gyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsobozesa okwogeranga amazima bulijjo, kubanga nnina essuubi mu nnamula yo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga naasuubiranga emisango gyo.