Psalms 119:86 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiragiro byo byonna byesigika, nnyamba, banjigganyiza bwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka go gonna geesigibwa; abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byonna bye walagira byesigibwa. Banjigganya awatali nsonga, ggwe onnyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe.