Psalms 119:87 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kata bansangulewo ku nsi, naye nze saava ku biragiro byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno; naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaabula kata bansaanyeewo ku nsi, naye saava ku biragiro byo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo.