Psalms 119:88 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okusaasira kwo nkuuma nga ndi mulamu, nsobole okutuusa akamwa ko bye kayigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange, ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza. LAMEDI
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'ekisa kyo, wonya obulamu bwange, ndyoke nkwatenga bye walagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza.