Psalms 119:95 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababi bannindirira okunzikiriza, naye nze neefumiitiriza by'oyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza; naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze nnaalowoozanga bye wategeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababi bannindiridde okunsaanyaawo, naye nze nnaalowoolerezanga ku biragiro byo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze naalowoozanga bye wategeeza.