Psalms 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamba, ayi Mukama, anti abatuufu baweddewo; abeesigwa babuze mu baana b'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu alimba munne; akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balimbagana ne bawaanagana mu bukuusa, Boogera n'emitima ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balimbagana ne bawaanagana, boogera kino nga bategeeza kirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Boogera ebitaliimu buli muntu ne munne: Boogera n'emimwa eginyumiriza n'emitima ebiri: