Psalms 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama azikirize emimwa gyonna eginyumiikiriza, ennimi ezoogera ebigambo eby'okwewaana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe, kubanga ani alitukuba ku mukono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aboogera nti, “N'olulimi lwaffe ge maanyi gaffe, Tujja kwogera buli kye twagala, ani ayinza okutuziyiza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olulimi lwaffe ge maanyi gaffe, tujja kwogera buli kye twagala. Ani ayinza okutuziyiza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aboogedde nti N'olulimi lwaffe tuliwangula; Emimwa gyaffe gye gyaffe: atufuga ye ani?