Psalms 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eby'abo abagamba nti: “Ennimi zaffe zirituwanguza; emimwa gyaffe tuli nagyo, kale ate ani mukama waffe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu, n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abaavu banyagibwako ebyabwe, abali mu bwetaavu basinda, Kaakano nnaayimuka, Mukama bw'ayogera. Nnaamuteeka mu bukuumi bwe yeegomba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Kubanga abaavu banyagibwako ebyabwe, n'abayigganyizibwa basinda, nja kusituka mbakuume nga bwe beegomba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okunyagibwa kw'abaavu, olw'okusinda kw'abanafu, Kaakano naagolokoka, Mukama bw'ayogera; Naamuteeka mu mirembe gwe basooza.