Psalms 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olw'okubonaabona kw'abatene n'okwaziirana kw'abaavu, kati ka nsituke,” Omukama bw'agamba, “nzija kubataasa oyo abavuma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa n’effeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama by'asuubiza bya mazima, Biri nga ffeeza eyisiddwa mu kyoto ky'omuliro, Erongooseddwa emirundi omusanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama by'asuubiza bya mazima, biri nga ffeeza ayooyooteddwa mu kyoto ky'omuliro, n'atukuzibwa emirundi musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu; Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi, Erongoosebwa emirundi omusanvu.