Psalms 123:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'amaaso g'abaweereza bwe gasimbye ku mikono gya mukama waabwe, ng'amaaso g'omuzaana bwe gasimbye ku mikono gya mugole we, n'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gakutunuulidde, ayi Mukama Katonda waffe, okutuusa lw'onootukwatirwa ekisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe; n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, okutuusa lw’alitusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, amaaso g'abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe, Amaaso g'omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, N'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, Okutuusa lw'alitusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'abaddu bwe batunuulira mukama waabwe, era ng'abazaana bwe batunuulira mugole waabwe naffe bwe tutunuulira ggwe, Mukama Katonda waffe, okutuusa lw'otukwatirwa ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)