Psalms 126:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akamwa kaffe kajjula enseko, n'olulimi lwaffe okujaganya. Olwo mu b'amawanga ne bagamba nti: “Omukama abakoledde eby'ekitalo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko, ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu. Amawanga ne gagamba nti, “ Mukama abakoledde ebikulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko, N'olulimi lwaffe ne luyimba olw'essanyu, Ne balyoka boogerera mu mawanga Nti, “ Mukama abakoledde ebikulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twasekereza ne tuyimba olw'essanyu, ab'amawanga amalala ne bagamba nti: “Mukama abakoledde ebikulu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko, N'olulimi lwaffe okuyimba: Ne balyoka boogerera mu mawanga Nti Mukama abakoledde ebikulu.