Psalms 127:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluyimba lw'amambuka. Lwa Solomoni. Wabula ng'Omukama y'azimbye ennyumba, abagizimba bateganira busa; wabula ng'Omukama y'akuumye ekibuga, omukuumi atunuulirira busa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama bw’atazimba nnyumba, abo abagizimba bazimbira bwereere. Mukama bw’atakuuma kibuga, abakuumi bateganira bwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere. Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bw'aba nga si ye azimba ennyumba, abagizimba bateganira bwereere. Mukama bw'aba nga si ye akuuma ekibuga, abakuumi okutunula batawaanira bwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere: Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere.