Psalms 127:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bya busa mmwe okuzuukuka nga bukyali ne mwebaka nga buyise, nga mukuluusanira omugaati ogw'okulya, kubanga b'ayagala abagabira bakyebase.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola, ate n’olwawo n’okwebaka ng’okolerera ekyokulya; kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muteganira bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka, Era bwe mulya emmere ey'okutegana, Kubanga abaagalwa be abawa otulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tekirina mugaso okuteganira kye munaalya, ne muzuukuka nga tebunnalaba, era ne mwebaka mu matumbi. Mukama b'ayagala abawa nga bali mu tulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukolera bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka; Era bwe mulya emmere ey'okutegana: Kubanga bw'abawa bw'atyo otulo abaagalwa be.