Psalms 127:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja oyo yeesiimye ow'ensawo ejjudde obusaale, taliswala bw'alyaŋŋanga abalabe be ku mulyango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alina omukisa omuntu oyo ajjuzza ensawo ye n’obusaale, kubanga tebaliswazibwa; balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo; Tebaakwatibwenga nsonyi, Bwe banaayogereranga n'abalabe baabwe mu mulyango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wa mukisa alina obusaale ng'obwo obungi, bw'aliyomba n'abalabe be ku mulyango taliwangulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo: Tebaakwatibwenga nsonyi, Bwe banaayogereranga n'abalabe baabwe mu mulyango.