Psalms 128:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olirya ku bibala by'emikono gyo; weesiimye, birikugendera bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo; oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga onoolyanga ebibala ebiva mu kukola kwo, Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olirya ku bibala by'entuuyo zo, oliraba ebirungi, oliba wa mukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga onoolyanga emirimu egy'emikono gyo: Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi.