Psalms 128:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala, munda mu nnyumba yo; abaana bo, ng'obulokolerwa bwa oliva okwetooloola olujjuliro lwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala ennyo mu nnyumba yo; Abaana bo nga balinga ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nnyumba yo. Abaana bo baliba ng'amatabi ag'omuti omuzayiti nga beetoolodde olujjuliro lwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nju ez'omunda mu nnyumba yo: Abaana bo ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo.