Psalms 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kutuusa wa, ayi Mukama? Onneerabiridde ddala? Onootuusa wa okunkweka amaaso go?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi, n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi? Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndituusa wa okweraliikiriranga, N'okuwulira obuyinike mu mutima gwange obudde okuziba? Omulabe wange alituusa wa okunneegulumiririzaako?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndituusa wa okweraliikiriranga, n'okuwulira mu mutima obuyinike olunaku lwonna? Omulabe wange alituusa wa okunninnyako?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndituusa wa okuteesanga mu mmeeme yange, Nga ndaba ennaku mu mutima gwange obudde okuziba? Alituusa wa omulabe wange okugulumizibwanga ku nze?