Psalms 130:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli, suubira mu Mukama, kubanga ekisa kiri na Mukama, ewuwe eriyo okununula okw'omwero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo; era y’alina okununula okutuukiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe Isiraeri, suubiriranga mu Mukama; Kubanga awali Mukama we wali okwagala okwolubeerera, Era awali ye we wali okununula okungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli weesigenga Mukama kubanga wa kisa, buli kiseera yeetegese okununula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe Isiraeri, suubiranga Mukama; Kubanga awali Mukama we wali okusaasira, Era awali ye we wali okununula okungi.