Psalms 131:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluyimba olw'amambuka. Lwa Dawudi. Ayi Mukama, omutima gwange tegwekuza, n'amaaso gange tegakuumiira; sigoba bintu binene oba byewuunyisa ebimpitiriddeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama siri wa malala, so n’amaaso gange tegeegulumiza. Siruubirira bintu binsukiridde newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, omutima gwange si gwa malala, newakubadde amaaso gange tegeegulumiza; So ssitambulira mu bigambo ebikulu. Newakubadde mu bigambo eby'ekitalo ebinnema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, seekulumbaza, situnuza lwetumbu, siruubirira bikulu, wadde ebinsukkiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama omutima gwange si gwa malala, newakubadde amaaso gange tegeegulumiza; So sitambulira mu bigambo ebikulu. Newakubadde mu bigambo eby'ekitalo ebinnema.