Psalms 131:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omwoyo gwange nagukkakkanya ne nguteesa ng'avudde ku mabeere bw'aba ne nnyina; ng'avudde ku mabeere n'omwoyo gwange bwe guli gutyo mu nze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere. Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima ŋŋonzezza emmeeme yange, ngisirisizza; Ng'omwana avudde ku mabeere awali nnyina, N'emmeeme yange eri we ndi bw'etyo ng'omwana avudde ku mabeere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula nteredde, nsirise ng'omwana bw'asirika, ng'ali ku kifuba kya nnyina. Ddala bwe ntyo nange bwe nteredde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima ŋŋonzezza emmeeme yange, ngisirisizza; Ng'omwana avudde ku mabeere awali nnyina, N'emmeeme yange eri we ndi bw'etyo ng'omwana avudde ku mabeere.