Psalms 132:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yalayirira Dawudi, ekirayiro kyatalimenyawo nti: “Omwana yennyini gwe weezaalidde, gwe nditeeka ku nnamulondo yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda yalayirira Dawudi ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako. Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yalayirira Dawudi mu mazima; Talikyuka kugaleka, Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yalayirira Dawudi n'anyweza kye yasuubiza ky'atagenda kukyusaako: “Ndituuza omu ku batabani bo ku ntebe yo ey'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yalayirira Dawudi mu mazima; Talikyuka kugaleka: Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo.