Psalms 132:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana bo bwe baliba bakuumye endagaano yange n'ebiragiro bye mbayigiriza, n'abaana baabwe bennyini balituula ku nnamulondo yo emirembe n'emirembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga, ne batabani baabwe nabo banaatuulanga ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga, Era n'abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana bo bwe banaakuumanga endagaano yange n'ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga, n'abaana baabwe banaasikiranga obwakabaka bwo emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga, Era n'abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna.