Psalms 132:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kumuweera n'ebyokulya eby'omwero; abaavu be mbakkuse n'emmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi, era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n'ebirungi byakyo; Nnakkusanga abaavu baakyo emmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaawanga Siyooni byonna bye kyetaaga, abaavu baakyo nnaabakkusanga emmere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naakiwanga omukisa mungi ekyengera kyakyo: Nakkusanga abaavu baakyo emmere.