Psalms 132:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona be ndibambaza obulokofu, n'abatuukirivu be balijaganya ebitayogerekeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe; n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi; N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona baakyo ndibawa omukisa mu bye bakola byonna n'abatukuvu abakirimu banaajaganyanga olw'essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi: N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu.