Psalms 135:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, erinnya lyo libeerawo emirembe gyonna, ayi Mukama, ojjukirwa mu mazadde n'amazadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera, era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erinnya lyo, Ayi Mukama, lya lubeerera ennaku zonna; Limanyibwa, Ayi Mukama, okutuusa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Erinnya lyo, ayi Mukama, lisigalawo ennaku zonna. onojjukirwanga emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erinnya lyo, ai Mukama, libeerera ennaku zonna; N'ekijjukizo kyo, ai Mukama, okutuusa emirembe gyonna.