Psalms 135:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Omukama aliworereza abantu be, alisaasira abaweereza be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango, era alisaasira abaweereza be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama aliggyako abantu be omusango, Era alisaasira abaweereza be,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama anaataasanga abantu be, anaasaasiranga abaweereza be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama alisalira omusango abantu be, Era alyejjusa mu bigambo eby'abaddu be.