Psalms 136:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyakola ebyaka ebinene, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo eyakola ebyaka ebinene, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo eyakola ebyaka ebikulu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakola ebyaka ebikulu, ekisa kye kya mirembe gyonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo eyakola ebyaka ebikulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.