Psalms 137:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti eyo abaatutwala mu busibe gye baatusabiranga ennyimba; abaatulabya ennaku gye baatugambiranga tuyimbe n'essanyu nti: “Mutuyimbire mu nnyimba za Siyoni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaatunyaga ne batulagira okuyimba, abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka; nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagira okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti, “Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga eyo abaatutwala mu busibe baatugamba okuyimba. Abatubonyaabonya baatulagira okusanyuka nti: “Mutuyimbire mu nnyimba za Siyooni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagirira eyo okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.