Psalms 137:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olulimi lunkwatire ku kibuno obanga sikujjukira, obanga Yeruzaalemu, si ggwe nkiza buli ssanyu lyange lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange singa nkwerabira, ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako okusinga ebintu ebirala byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange, bwe siikujjukirenga era bwe siikwagalenga okusinga byonna ebinsanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olulimi lwange lwegattenga n'ekibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange ekkulu.