Psalms 137:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, jjukira abantu ba Edomu ku lunaku Yeruzaalemu lwe yagwa. Baagambanga nti: “Mukimenyewo, mukimenyewo, okutuukira ddala ku myaliiro gyakyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola, ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa; ne baleekaana nti, “Kisuule, kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jjukira, Ayi Mukama, abaana ba Edomu Ku lunaku Yerusaalemi bwe kyasuulibwa; Abaayogera nti, “ Kisuule, kisuule, n'emisingi gyakyo!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, jjukira aba Edomu kye baakola ku lunaku Yerusaalemu lwe kyawambibwa, bwe baagamba nti: “Mukisaanyeewo, mukisaanyeewo n'emisingi gyakyo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ojjukire, ai Mukama, ku baana ba Edomu Olunaku olw'e Yerusaalemi; Abaayogera nti Kisuule, kisuule, Era n’emisingi gyakyo.