Psalms 137:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi muwala wa Babiloni, omuzikiriza, yeesiimye alikuweera olw'ebyo bye watukola;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa, yeesiimye oyo alikusasula ebyo nga naawe bye watukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe omuwala ow'e Babbulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Babilooni oli wa kuzikirizibwa. Wa mukisa akusasula bye watukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe omuwala ow'e Babulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe.