Psalms 138:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwa Dawudi. Nkwebaza, ayi Mukama, n'omutima gwange gwonna, nnaakuyimbira ettendo mu maaso g'abamalayika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna; ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nneebazanga n'omutima gwange gwonna; Mu maaso ga bakatonda nnaayimbanga okukutendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, nkwebaza n'omutima gwange gwonna, nnyimba ne nkutendereza mu maaso ga balubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nneebazanga n'omutima gwange gwonna: Mu maaso ga bakatonda naayimbanga okukutendereza.