Psalms 138:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndyeyala ntunuulidde Ekiggwa kyo ekitukuvu, ne ngulumiza erinnya lyo, olw'okubeera ekisa kyo n'obwesigwa bwo, kubanga wagulumiza ekigambo kyo n'erinnya lyo okusinga byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaasinzizanga eri Yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go; Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaasinzanga nga ntunuulidde Essinzizo lyo ettukuvu, ne nkwebaza olw'ekisa kyo n'olw'obwesigwa bwo, kubanga wagulumiza erinnya lyo n'ekigambo kyo okusinga ebirala byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnaasinzizanga eri yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go: Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.